Job 29:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali kitaawe w'abaavu, nekkaanyanga ensonga z'omugwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali kitaawe w’abanaku, ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabanga kitaabwe abaavu. Era nakkaanyanga ensonga z'abo be simanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nafuuka kitaawe w'abaavu. Nekkaanyanga ensonga z'abo be simanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.