Job 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lwaki saafa nga nzaalibwa? Lwaki saafa nga nfuluma mu lubuto?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki saafiira mu lubuto? Lwaki ssaafa nga nnakazaalibwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki saafiirawo nga nzaalwa, olwava mu nda ya mmange ne nzisa ogusembayo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda?