Job 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ababi gye bakomeza okutawaanya; eyo abaweddemu endasi gye bawummulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era n’abakooye gye bawummulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo mu ntaana ababi bakoma okuteganya abantu, Era eyo abakoowu gye bawummulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo mu ntaana ababi, bakoma okuteganya abantu, era eyo, abalungi gye bawummulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira.