Job 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro ekyo kibeere kigumba, mubulemu okuleekaana okw'essanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala, ekiro ekyo kibe kigumba; Kireme kubeeramu kusanyuka kwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ekiro ekyo kibe kya bugumba; kireme kuwulirwamu basanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu.