Job 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmunyeenye zaalwo ez'oku makya zizikire, lulindirire bwereere obudde okukya, luleme kulaba ku bisige bya mmambya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emmunyeenye ez'amakya gaakyo zibe kizikiza: Kisubire ekitangaala, naye kibule, Era kireme okulaba ku mmambya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmunyeenye z'amakya gaakyo zireme okulabikako. Ekitangaala kye kisuubira, kibule, kireme kulaba ku mmambya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya: