Job 30:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baabo kati bansekerera, abato ku nze, bakitaabwe be sagwanyizanga kuteeka wamu na mbwa za ggana lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye kaakano bansekerera; abantu abansinga obuto, bakitaabwe be nnandibadde nteeka wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano be nsinga obukulu be bansekerera. Bakitaabwe n'abanyoomanga be ssakkirizanga kubeera wamu n'embwa ezakuumanga ekisibo kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye kaakano be nsinga obukulu be bansekerera. Bakitaabwe nabanyoomanga ne sibakkiriza kubeera wamu na mbwa zikuuma ggana lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.