Job 30:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakutulakutula mu makubo gange; basobola okunsaanyaawo awatali n'abayambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banzingiza ne banzikiriza, nga tewali n’omu abayambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baziba ekkubo lyange, basobole okunzikiriza, Tewali wa kubaziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baziba ekkubo lyange basobole okummalawo, nga tebeetaaze muyambi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa ow'okubayamba.