Job 30:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munda munneefumba awatali kuweera; ennaku ez'okubonaabona zinzijiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima guncankalanye tegulina bwe guweera. Ekiseera eky'okubonaabona kituuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutima guncankalanye, tegulina bwe guweera. Ekiseera ky'okubonaabona kintuuseeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko.