Job 30:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzirugadde amaaso, naye si lwa musana; nnyimirira mu kibiina ne mpanjaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ntambula nga nnakuwadde, sirina kusaasirwa. Nneesimba we bakungaanidde, ne nsaba bannyambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntambula nnakuwadde, ne sifunayo kikubagizo. Nneesimba we bakuŋŋaanidde, ne nsaba nti bannyambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe.