Job 30:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bakabiriddwa olw'obwavu n'enjala, baabunganga mu ddungu ekiro, mu nkoola ne mu malungu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala, bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'obwavu n'enjala, Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'obwavu n'enjala ebaluma balumaaluma ebikalu ekiro mu kizikiza mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka.