Job 31:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuliro ogukavvula okutuusa ku kuzikirira, ogwandisimbudde buli kye nnina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira, ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyandibadde muliro ogwokya ne guzikiriza, Ogwandiwemmense buli kyange kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyandibadde muliro ogwokya, oguzikiriza. Gwandiwemmense buli kye nnina kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza, Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna.