Job 31:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba nagaana okuwulira omuddu wange n'omuzaana nga banninako ensonga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi, bwe banninaako ensonga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga nali ngaanyi okuwuliriza ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Nga baneemulugunyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oba nagaana okuwulira omuddu wange oba omuzaana wange nga banneemulugunyiza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Bwe bampawaabira: