Job 31:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba abaavu saabawa kye baali baagala, oba naleka amaaso ga nnamwandu ne gamuyimbaala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna, era obanga nakaabya nnamwandu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si ganaanga kuwa mwavu kye yeetaaga, Oba okumalawo essuubi lya nnamwandu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali nnyimye abaavu bye beetaaga? Nali mmazeeko nnamwandu essuubi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba, Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu;