Job 31:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba nalaba afa olw'obutaba na kyakwambala, oba omwavu atalina kya kwebikka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo, oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnalabanga omuntu afa olw'okubulwa eky'okwambala, Oba omwavu atalina kye yeebikka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nalabanga omuntu afa olw'okubulwa ekyokwambala, oba omwavu atalina kye yeebikka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo, Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka: