Job 31:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba bwe nalaba obunene bw'ekibiina, n'entya okugayibwa ab'ekika, wabula ne nsirika busirisi, ne sibuuka mulyango kufuluma
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olw’okutya ekibiina, nga ntya okuswala mu kika, ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okutya ekibiina ky'abantu, N'okunyoomebwa ab'ekika kyange. N'okusirika ne nsirika ne siva mu nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olw'okutya ekibiina ky'abantu, n'okunyoomebwa ab'eŋŋanda. Ne nzira awo ne nsirika, ne nnema n'okuva mu nnyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene, N'okunyoomebwa ebika ne kunkanga, N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango.