Job 31:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
(Singa nalina nno ampuliriza? Ako ke kabonero kange. Omuyinza wa buli kantu annyanukule. Annumiriza asse empaaba ye mu buwandiike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
so nga waliwo ayinza okumpulira, leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu; n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale singa waliwo awulira bye njogera! Ebigambo bye nkakasa, Omuyinza w'ebintu byonna anziremu. Nnandyagadde oyo ampawaabidde ampe omusango mu buwandiike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale singa waliwo awuliriza bye ŋŋamba! Bye byange ebyo bye nkakasa. Omuyinzawaabyonna anziremu. Nandyagadde oyo ampawaabidde ampe omusango mu buwandiike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa wabaddewo anampulira! (Laba, kano ke kabonero kange Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;) Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise!