Job 31:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu kifo ky'eŋŋano amatovu ge gaba gamerawo, oba omuddo mu kifo kya sayiri.” Ebigambo bya Yobu biweddeyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano, n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.” Ebigambo bya Yobu byakoma wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwennyango gukule mu kifo ky'eŋŋaano, Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu bikomye wano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale omwennyango gukulemu mu kifo ky'eŋŋaano; ne ssere mu kifo kya bbaale.” Ebigambo bya Yobu bikomye awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano. Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu biwedde.