Job 32:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abo abasatu ne balekera awo okwanukula Yobu, kubanga ye yeerabanga nti mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abo abasatu ne balekerawo okuddamu Yobu, kubanga yabalaga nti yali talina kibi kye yali akoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja abasatu ne balekera awo okuddamu Yobu, kubanga yalaga nti yeemanyi nga taliiko ky'avunaanibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yaii mutuukirivu mu maasoge ye.