Job 32:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale laba, nalindiridde nga mwogera; nawulirizza eby'amagezi bye mwogera, buli omu nga bw'alonda ebigambo ebituufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nassizzaayo omwoyo nga mwogera, nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbawuliriza nga mwogera, Mpulire oba nga munayogera ebya makulu, Naye nga ebigambo munoonya binoonye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mubadde mukyanoonya bye munaayogera, ne nnindirira ebigambo byammwe mpulirize eby'amagezi ebibavaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera.