Job 32:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabagoberedde bulungi, tewali mu mmwe alaze bukyamu bwa Yobu, mu mmwe temuli ayanukudde bigambo bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabawulirizza bulungi. Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu; tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbawuliriza bulungi, Sirabye n'omu avuganya Yobu mu bigambo, Wadde asobodde okumwanukula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbateereddeyo omwoyo okuwuliriza, ku mmwe ne wataba n'omu avuganya Yobu mu bigambo, wadde ayanukula by'aleese.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe.