Job 32:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tannanjolekeza bigambo bye; nze sijja kumuwakanyiza ku bigambo byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze, era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo bye tabyolekezza nze. Nange ssiimuddemu na bigambo ebiringa ebyo ebyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo bye tabyolekezza nze. Naye nze sandimuzzeemu na bigambo ng'ebyo ebyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe.