Job 32:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munda nninga omwenge omusaanikire ogutuyidde, nninga endyanga empya ezibula okwabika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwange gulinga omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nziyidde siriiko we nzisiza. Ndi ng'omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika.