Job 32:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa Eliwu mutabani wa Barakeli Omubuzi asibuka mu Ramu, ne bweserera ku Yobu; obusungu bwe bwesera kubanga yeeyitanga mutuufu mu kifo kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mutuukirivu n'anenya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elihu, mutabani wa Barakeeli Omubuuzi, ow'omu lulyo lwa Raamu, n'abuubuuka obusungu, kubanga Yobu yeeyita atalina musango, n'anenya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mntuukirivu so si Katonda.