Job 32:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwe bweserera ne ku mikwano gye abasatu kubanga tebaazuula bya kwanukula Yobu, sso nga bamuvunaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gya Yobu abasatu kubanga baabulwa kye baddamu Yobu, naye ne bamusalira busalizi musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Elihu n'asunguwalira ne mikwano gya Yobu abasatu, kubanga baabulwa kye baanukula Yobu, newaakubadde baali bamaze okusalira Yobu omusango okumusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga.