Job 32:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliwu yalindako okwogera ne Yobu kubanga bali be baali bamusinga obukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Eriku yali alindirira okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abali baamusinga obukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elihu yali akyalinze okubaako ky'agamba Yobu, kubanga waaliwo abaali basinga Elihu obukulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu.