Job 32:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliwu mutabani wa Barakeli Omubuzi n'ayanukula, n'agamba nti: “Ndi muto mu buzaale, mmwe muli bakulu; kyenvudde ntya ne siguma kubagamba kye mmanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti, “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakulu, kyenavudde ntya okubabuulira kye ndowooza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'agamba nti, “Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo, Kyennavudde ntya ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elihu ono, mutabani wa Barakeeli Omubuuzi, n'addamu ng'agamba nti: “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakadde. Kyenvudde ntya ne saŋŋanga kubalaga kye mmanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.