Job 32:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omwoyo mu muntu, mukka gwa Muyinza wa buli kantu ogumuwa okutegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka omwoyo oguli mu muntu, nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omwoyo wa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, Ajja ku bantu n'abawa okutegeera
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mwoyo wa Katonda mu bantu, omukka ogubateekebwamu Omuyinzawaabyonna, gwe gubawa okutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera.