Job 33:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubiri gwe emmere n'egufuukira ekyenyinyalwa; omwoyo gwe ne gwetamwa ebyokulya bye gwayoyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa eby'okulya, N'ebyamuwoomeranga ng'atakyabyegomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu bwe butamwa by'alya. N'ebyamuwoomeranga, n'atabyegomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere, N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo.