Job 33:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa ewuwe waliyo malayika, omutabaganya, omu mu lukumi, abuulire omuntu ekituufu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa wabaawo malayika ku ludda lwe, amuwolereza, omu ku lukumi, okubuulira omuntu ekigwanidde;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda, Enkumi n'enkumi, Abategeeza abantu ebibagwanira okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda enkumi n'enkumi abayamba abantu okubalaga ekituufu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba waliwo wamu naye malayika, Omutegeeza, omu mu lukumi, Okwolesa abantu ebibagwanira;