Job 33:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awanjagira Katonda, n'amusanyukira, alaba amaaso ge, n'ajaguza, n'addiza omuntu obutuukirivu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa. Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu, Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo omuntu oyo asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa, N'ajja mu maaso ge nga musanyufu, Kubanga amuwonyeza okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo omuntu oyo asinza Katonda, Katonda n'amukwatirwa ekisa, n'ajja mu maaso ge nga musanyufu, kubanga amuwonyezza okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa; N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.