Job 33:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayimbira abantu n'agamba nti: ‘Nakola ekibi, obutuufu nabusobya, naye saafuna kiŋŋwanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: Nnayonoona, ne nkola ebitasaana. Naye Katonda natambonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: ‘Nayonoona, ne nkola ebitatuuse. Naye ne sibonerezebwa nga bwe nsaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi, So ssiriiko kye nnagasibwa: