Job 34:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno mumpulirize mmwe ab'omutima ogutegeera: Kikafuuwe Katonda okweyisa obubi, Omuyinza wa buli kantu okubeera atali mwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera. Kikafuuwe Katonda okukola ebibi, wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera. Tekiyinzika n'akatono Katonda okukola obubi. Era Omuyinza w'ebintu byonna, okukola ebitali bya butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muntegere amatu mmwe abantu abategeevu. Tekiyinzika n'akatono Katonda kukola bitasaana. Era Omuyinzawaabyonna okukola ate ebisobyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera: Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi; N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu.