Job 34:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aweera omuntu okusinziira ku ky'akoze; amuleka ne kimutuukirira nga bwe yeeyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze; n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga alisasula buli muntu empeera, nga bwe yakola. Era nga buli muntu amakubo ge bwe gali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga aliwa buli muntu empeera, ng'asinziira ku ebyo buli omu bye yakola. Omuntu n'alaba nti ky'afunayo kye kiikyo ekigwanira empisa ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe, Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.