Job 34:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yamukwasa ensi ye? Ani yassaawo ensi yonna?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi? Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka buli kintu nga bwe kiri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yamuwa omulimu gw'okulabiriranga ensi? Oba ani yateekateeka buli kintu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka ebintu byonna bwe byenkana?