Job 34:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale atayagala butuufu asobola okufuga obwakabaka? Omutuukirivu era Omuyinza olimusingisa omusango?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akyawa eby'amazima ayinza okufuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi omusango okumusinga?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akyawa obwenkanya ayinza okufuga? Oyo omutuufu ow'amaanyi gw'osalira omusango okumusinga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akyawa eby'ensonga oyo alifuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi okumusinga?