Job 34:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ateekubiira wa mukungu; atattira ku liiso mugagga n'asaliriza omwavu, kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo teeyeekubira ku ludda lw'abafuzi, Ayisa kyenkanyi abagagga n'abaavu. Kubanga bonna ye ya batonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye oyo ateekubiira ku ludda lw'abafuzi, ayisa obumu abagagga n'abaavu. Kubanga batonde be bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusinga ennyo si kirungi okugamba oyo atatya maaso ga balangira, So talowooza mugagga okusinga omwavu? Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.