Job 34:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ye amanyidde ddala bye bakola, abayirimula wansi ekiro, n'ababetenta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe, abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bw'amanyi bye bakola, Era abavuunika kiro n'abazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bye bakola bw'abimanyi, abavuunika kiro n'abazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava alabirira emirimu gyabwe; Era abavuunika kiro n'okuzikirizibwa ne bazikirizibwa.