Job 34:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa asirika busirisi, anaamuvunaana? Bw'akweka amaaso ge, ani anaamulaba? So nga ye omu akuuma eggwanga n'abantu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya? Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba? Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'asalawo obutabaako ky'akola, kale ani ayinza okumusalira omusango okumusinga? Bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumulaba? Ne bwe liba ggwanga oba nga muntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'asalawo obutabaako ky'asalawo, ani ayinza okumusalira omusango okumusinga? Bw'akweka amaaso ge, ani ayinza okumulaba, ne bwe liba ggwanga oba omuntu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye bw'awa okutereera, kale ani ayinza okusala omusango okusinga? Era ye bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumutunuulira? Oba nga ggwanga oba nga muntu, kyonna bwe bumu: