Job 34:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alikuweera olw'okubeera ebigambo byo bw'ogaana okwenenya? Ggwe onoolondawo, si nze; ggwe yogera ky'omanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala, akuleke ng’ogaanye okwenenya? Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze; noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwowakanya Katonda ye ky'akola, olowooza ayinza okukola gwe ky'oyagala? Awo ggwe olina okusalawo, sso si nze. Kale yogera ekyo ky'omanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba owakana, olowooza nti Katonda yandibonerezza omuntu ng'oyo? Awo ggwe olina okusalawo, sso si nze. Kale yogera ky'omanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empeera ye eriba nga ggwe bw'oyagala n'okugaana n'ogigaana? Kubanga ggwe oba weeroboza so si nze: Kale yogera ekyo ky'omanyi.