Job 34:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ku bibi bye ayongerako obujeemu; engalo azikubamu mu makkati gaffe, n'ayongera obungi ebigambo bye ebivuma Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu, n’akuba mu ngalo wakati mu ffe, n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku bibi bye, ayongerako obujeemu. Anyooma Katonda ng'asinziira wakati mu ffe, n'ayogera obutamala okuwakanya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ku bibi bye, ayongerako obujeemu. Anyooma Katonda ng'asinziira wakati mu ffe, n'ayogera olutakutuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ayongera obujeemu ku kwonoona kwe, Akuba mu ngalo ze ng'ayima wakati mu ffe, Era ayongerayongera ebigambo bye okuwakanya Katonda.