Job 34:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ndi mutuufu, bagamba nnimba; awatali musango akasaale kanfumise ekiwundu ekitawona.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde nga ndi mutuufu, ntwalibwa okuba omulimba, wadde nga siriiko musango, akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde ndi mutuufu, mpitibwa mulimba. Nfumitiddwa nfe bufi, newakubadde nga ssiriiko musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde ndi mutuufu, mpitibwa mulimba. Wadde sizzanga musango, nfumitibwa nfe bufi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde nga nnina ensonga mpitibwa mulimba; Ekiwundu kyange tekiwonyezeka, newakubadde nga ssiriiko kusobya.