Job 35:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala bya busa, Katonda tabawulira; Omuyinza wa buli kantu tatunula nayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima Katonda taawuliriza bigambo bitaliimu, Omuyinza w'ebintu byonna tabissaako mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakaabira bwereere, Katonda tawuliriza byabwe. Era Omuyinzawaabyonna tatunulako gye bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo.