Job 35:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Yobu ayasamiza bwereere akamwa ke; ayongera bungi ebigambo omutali magezi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu; obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu nsa, Ayongera kwogera bigambo byatamanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yobu ayogera bitaliimu nsa, ayongera kwogera by'atamanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.