Job 35:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bawanjaga olw'obungi bw'okunyigirizibwa; basaba obuyambi bateewuluzibwe mu mikono gy'ab'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi, balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okujoogebwa okungi ennyo abantu bakaaba. Bakaaba bafune abayamba okubalokola mu omukono ogw'ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okunyigirizibwa okungi abantu baleekaana. Bakaaba bafune ayamba okubawonya ab'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi.