Job 36:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bawulira ne bamuweereza, ennaku zaabwe ezisigadde balizimala bulungi, n'emyaka gyabwe mu kusanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bamugondera ne bamuweereza, ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima, era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balina omukisa, Era nga basanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalangako obulamu bwabwe nga balina emikisa, era nga basanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka.