Job 36:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe batawulira, balifa ekitala, ne bafiira mu butategeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe batamugondera, baalizikirizibwa n’ekitala, bafe nga tebalina magezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe batawulira, banaazikirizibwanga n'ekitala, Era banaafanga lw'obutamanya bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe batawulira, balizikirizibwa olumbe. Balifa olw'obutamanya bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya.