Job 36:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aboonoonyi tebaggwaako ssungu ku mutima, ne bw'abasiba amasamba tebaliwanjaga kuyambibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi. Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo abatamanyi Katonda basiba obusungu ku mutima. Ne bw'ababonereza tebamusaba kubayamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abatassaamu Katonda kitiibwa basiba obusungu ku mutima. Ne bw'ababonereza tebamusaba kubayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba.