Job 36:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ababonaabona abawonya ennaku yaabwe, ayogera nabo mu bunaku bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe, n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda ayigiriza abantu ng'ayita mu kubonaabona kwabwe. Era mu buyinike bwabwe mw'aggulira amatu gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda ayigiriza abantu ng'ayita mu kubonaabona kwabwe. Mu buyinike bwabwe mw'aggulira amatu gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.