Job 36:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Akuwooyawooya akuggye mu mannyo g'obulemu, akutwale awagazi awatali kwenyiga, ku mwaliiro okuli ebyokulya ebya ssava.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona, akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa, omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda yakuggya mu kulaba ennaku, N'akuleeta mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa. N'emmeeza yo nejjula eby'okulya ebiwooma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Katonda yakuggya mu buzibu n'akuwonya okutawaanyizibwa. Olujjuliro lwo ne lujjula ebyokulya ebiwoomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.