Job 36:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati olamulibwa ng'omubi; okulamulibwa n'omusango bikukwatirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira; okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe omaze okusalirwa omusango, Tokyalina walala wonna wojjulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano osaliddwa omusango mu bujjuvu, nga babi banno abalala. Omusango gusaliddwa, tokyalina gy'ojulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata.